Olina olubuto lwotayagala? Tusobola okukuyamba

Safe Abortion Information options discussion

Tuweleza abakyala munsi yona byona ebikwata kujjamu olubuto okutali kwakabenje, basobole okufuna obuyambi ewa, ddi, ate nomusawo gwebasinga okwesiga.

okubudabuda kwa ba kansala abakugu

Ebikwata ku kugyamu lubuto- manya ebisingawo

[1] buli mwaka, ebitundutundu 40% ebyembuto abakyala zebafuna, tebazetegekera. Kino kitegeza buli lunako abakyala okuva munsi yona bafuna embuto zebatetegekedde era olw`ensonga ez`enjawulo abamu basalawo okuzijjamu. abakyala bona, awatali kusosola mu gwanga,ddini, kitibwa mu bantu, oba jjebabela, betaga obutafuna kabenje kona singa bavamu olubuto era betaga enkola entufu ez`okubudabudibwa.

Tukuweleza ebikwata kunkola ezenjawulo ezokujjamu olubuto

 


Okuyambibwa okujjamu olubuto

Yiga ebisingawo kujjamu olubuto nempeke. Bakansala ba safe2choose basobola okuwabula awamu nokusembeza kumpi nawosobola okuyambibwa

Okutandika


Yiga ate osasanye ebikwata kujjamu olubuto

Buli lwokoma okumanya ebikwata kujjamu olubuto, lwokoma okubela omwetegefu. Manya ebisingawo kumateeka agakwata kujjamu olubuto munsi yo, ebigambibwa abakajjamu embuto nebilala ebikwata kujjamu olubuto okutalina kabengye.

Manya ebisingawo

Bino byebibuuzo 6 ebisinga okubuzibwa kujjamu olubuto

bwoba olina ekibuzo ku nkola eyokujjamu olubuto nga okozesa empeke, okujjamu olubuto nekyuuma ekinuuna. okulongossa nga ojjamu olubuto, oba ebitekeddwa okolebwa nga olubuto luvudemu, Kebera ku kibanja kyaffe ekya ebibuzo ebisingibwa okubuzibwa (FAQ). Bwotafuna kyewetaga oba wobba wetaga ebisingawo , tutukirire nga oyita ku peegi yaffe eyo kubudaabuda.

Okujjamu olubuto tekulina mutawana?

Okujjamu olubuto kye kyimu ku bikolwa abasawo ebitalina buzibu kumuntu nadala nga kikoledwa mu mitendela emitufu. Okufuna obuzimu na okkamu lubuto tekiweza katundu kamu 1 ku buli kikumi. At bwofuna obuzimu, kyangu nyo abasawo okuyamba amangu. [2]


Mulingo kyi omutuffu kukujjamu lubuto ogunkolela?

Okusalawo kunkola gyokozesa kisinzila ku bukulu bwolubuto. Bala ebanga lwomaze nga oli lubuto nga okozesa Kaliculata yaffe, olwo olyoke osalewo. Oja kwetaga nokumanya amateeka agafuga munsi yo, enkola ekuli okumpi, esente zolina ate nekyoyagala nga omuntu. Kyalila peegi yaffe eyo okukozesa empeke nga ojjamu olubuto no’kujjamu olubuto nekyuuma ekinuna oba peegi yaffe eyo kujjamu olubuto nga bakulongossa okumanya ebisingawo kuzino enkola.


Okujjamu olubuto kyetagisa sente meka?

Omuwendo ogwokujjamu olubuto gusinzila ekifo kyolimu nomulingo gwosazewo okukozesa. Tulina kubikwata kunsi enyinji. Kebela kubikwata kujjamu lubuto buli nsi awamu nempeke ezijjamu olubuto okunya kyi ekyikuli okumpi.


Okujjamu olubuto kuluma?

Kisinzila kumulingo gwokozeseza, bwokozesa empeke ezijjamu olubuto obanga ali munsonga ela obulumi bujanjabibwa ibuprofen. Okozesa okwoza munabaana bakusilisa ekifo kyebakolamu. Okumanya ebisinga awo, soma ku peegi yaffe eya empeke awamu nokwooza munabaana olyoke osalewo bulungi.


Nsobola okuddamu okufuma olubuto nga maze okujamu olubuto?

Nga tekiri kunkola gyokozeseza, bwojjamu olubuto mungeri entuffu tekigenda kendeeza bujiimu bwo, era kyangu okufuna olubuto olulala. Obujjimu busobola okudda mangu ddala nga mu nnaku 8 nga omazze okujjamu olubuto. Kiba kilungi okukozesa emilingo egyiziyiza okufuna olubuto bwoba nga tewetegese. Wuliliza omubili gwo osalewo ekisinga obulungi eli gwe. [3]


Mulingo kyi ogusinga okunkolela?

Bwotegela bulikikwata ku ngeli gyokozesa okujjamu olubuto, kikusobozesa okusalawo okuttufu ate okusinga eli gwe. Osobola okusoma ku ngeli bili ezokukozesa okujjamu olubuto olwansi wa wiiki 13 ku empeke awamu nokwooza munabaana, ela otukilile ba kansala baffe abasobola okukuyamba watali kusalil musango. [3]

[1] Guttmacher Institute. (2020) Unintended Pregnancy and Abortion Worldwide. Retrieved from: https://www.guttmacher.org/fact-sheet/induced-abortion-worldwide

[2] World Health Organization. (2012) Safe abortion: technical and policy guidance for health systems. Retrieved from: https://apps.who.int/iris/bitstream/handle/10665/70914/;jsessionid=AB2B02D2E41FB4F6CF95B5F59B0A9AF4?sequence=1

[3] Ipas. (2020). Clinical Updates in Reproductive Health. L. Castleman & N. Kapp (Eds.). Chapel Hill, NC: Ipas. Retrieved from: https://www.ipas.org/wp-content/uploads/2020/08/ClinicalUpdatesInReproductiveHealthCURHE20-English-digital.pdf