MVA ne EVA(ekyuma kyamasanyalaze) ekijjamu olubuto

Vacuum Aspiration Protocol

MVA Ne EVA(ekyuma kyamasanyalaze) ekijjamu olubuto nkola ezokujjamu olubuto paka ku sabiiti 14 (MVA) , 15(EVA) ezolubuto. Olupapula luno lunyonyola mubujuvu engeri kyebikolamu.

Okwoza mu nabaana nga ojjamu olubuto kitegezaki?

Okwooza munabana MVA nkola etalina buzibu eyokujjamu olubuto mu myezi egisooka esatu paka esatu ekitundu sabiiti 14 [1]. Era ebanga lya MVA okukola lisinzira ku kiliniki wamu n`omusawo agenda okukolako .

MVA ekolebwa omusawo omutendeke mu kiliniki oba eddwaliro.

Omusawo akozesa ebyuma ebinuna, okujjamu omwana okuva mu nabaana [2]. era ebisera ebisinga bakozesa eddagala erisirisa naye omukyala abera ategera bulungi. Kitwala wakati we ddakika 5-10. Omukyala afuna obulumi , era nokukulukuta omusaayi ogutali munji okutwala wiiki nga satu.

MVA kwe kwooza munabana naye amanya amalala mulimu okununamu, okwozamu,oba okujjamu olubuto mu dwalilo [1]

Okwoza mu nabaana nga ojjamu olubuto nga okozesa amasanyalaze kitegezaki?

Okukozesa amasanyalaze EVA kwekoza mu nabaana okujjamu olubuto nga okozesa masanyalaze okununamu ebitundu byomwana. Efanana ne Okwooza munabana MVA. lwakuba eno ekozesa masanyalaze. EVA ekozesebwa paka kumwezi ogwokuna nga gwakatandika. MVA ekolebwa omusawo omutendeke mu kiliniki oba eddwaliro.

Omusawo akozesa ebyuma ebinuna, okujjamu omwana okuva mu nabaana, era ebisera ebisinga bakozesa eddagala erisirisa naye omukyala abera ategera bulungi. Kitwala wakati we ddakika 5-10. Omukyala afuna obulumi , era nokukulukuta omusaayi ogutali munji okutwala wiiki nga satu.

Enjawulo wakati wa EVA ne MVA, EVA ekozesa masanyalaze okununamu ebitundu byoomwana, era erekana. olwokuba EVA yetaga amasanyalaze, eyinza obutaberawo mu bifo ebyabankusere [2]

Kiki ekiberawo nga bakola MVA?

1/ Eddagala nga Okwooza munabana tenatandika

Ekitongole kyebyobulamu kituragira okuwa eddagala eritta obuwuka nga tetunnaba kukola okwooza munabana awamu okukozesa amasanyalaze okusobola okukendeza ku mikisa jjokufuna obulwadde. [1]

Naye eddagala bwelitabawo tekilemesa MVA oba EVA kukolebwa. Bayinza nokukuwa eddagala nga ibuprofen okukendeza kubulumi ne ebisa. [2]

2/ Mukutekateka

okwekebeza nga tonakola MVA oba EVA

Bwogenda mu ddwaliro okujjamu olubuto nga booza munabana (MVA) oba bakozesa masanyalaze (EVA), waliwo emitendera jjoyitamu [2]:

  1. Okukebera oba oli lubuto nga bayita mu musuro
  2. Okukebera ekikka kyomusaayi Rh
  3. Okukebera olubuto nengalo oba okukukuba omukono okusobola okutebereza bulungi ebanga lyolubuto, oba katiivi
  4. okupima Pulesa.

Okukebera okulala kusobola okukolebwa okusinzira ku bwetavu

3/ Nga bajjamu olubuto nekyuuma ekinuuna

Omutendela 1. Okwooza munabana (MVA) oba bakozesa masanyalaze (EVA) ettandika nakukebera lubuto nga omusawo akozesa engalao ze

Omutendela 2. Eddagala erisanyalaza likubibwa ku mumwa gwa nabaana

Omutendela 3. Omusawo attandika okugulawo, wamu n`okugaziya omumwa gwa nabana nga akozesa ebyuma ebigaziya bya sayizi eyenjawulo okusinzira ku banga lyolubuto

Omutendela 4. Ogulawo omumwa gwa nabaana nga kuwedde, omusawo akozesa ekyuma kya MVA OBA ekya EVA okununamu omwana oba olubuto okuva mu nabaana.

Omutendela 5. Oluvanyuma omusawo ayinza okusalawo okukola ka tiivi era omukyala nalagirwa okuwumula. [2]

EBIFANANYI MVA mu mitendera

4/ Nga bamaze okwooza munabana

Okwooza munabana (MVA) oba bakozesa masanyalaze (EVA) , omulwadde atwala akasera katono nyo okuterera.

  • Omukyala nga tebamwebasiza, kitwala eddakika nga 30 okuterera
  • Omukyala gwebebasiza, kitwala eddakika nga 30 ku 60 nga eddagalaa bwelimuggwako.

Omukyala bwamala okuterera mu ddwaliro, asindikibwa ewaka . amalwaliro agamu gayinza okusaba abereko n`omuntu amuwerekerako. [2]

5/ Okulabirira wamu n`okubudabuda omukazi nga amaliriza okujjamu olubuto nga akozesa booza munabana.

Nga omaze okujjamu olubuto mudwalilo omukazi awebwa olunaku lw`okudda okulaba omusawo yadde nga kino sikyabuwaze. Omukazi awulirize okuwabulwa kw`omusawo.

Tewali budde bukakasidwa basawo omukazi bwalina okudamu okukola emirimu nga okunaba, duyiro, okwegata n`omusajja, okozesa pad. Naye okutwaliza awamu, omukazi akubilizibwa obutateka kintu kyona paka nga omusaayi gukendedde era nga simukwafu nyo. Era wano asobola okutandika okukola byona byagala nga bwaba alabye oba asobodde.

Omukazi ayina okuyigirizibwa wamu n`okuwebwa obubaka obukwata ku nkola ezenjawulo nga tanada waka. Ezisinga asobola okuzitandikilawo amangu ddala. Naye buli mukazi alina okusalawo kwe era awebwe engeri jjasobola okuwuliziganyamu n`eddwaliro oba kiliniki. [2]

okufuna enkola ya kizaalaggumba ennungi,era jjewerondede, kyalira www.findmymethod.org

Ekyuma kyokwooza munabana ekikozesebwa

Okwooza munabana MVA omusawo akozesa,ekyuma ekya mukonomukono kyebayita Ipas [2]. Ipas terekana,ennuna mu olubuto, era okuzula ebisingako kukyuma kya Ipas kebera wano.

EBIFANANYI MVA  ebya Ipas

Ekyuma ky’amasanyalaze ekikozesebwa mumutendera guno

Ekyuma kyamasanyalaze (EVA) Enkola eno ekozesa ekyuma nga omusawo akiteeka mu nabaana nekinuuna olubuto. Ekyuma kivaamu eddoboozi ery’omwanguka wakati w’okunuuna olubuto.

Ebiyinza okuva mukukozesa ebyuma ebinuuna embuto

Obulumi obuinga okuva munkola eno kwekulumizibwa enseke wakati mukunuuna olubuto. Okulumizibwa kuno kugenda kukendera oluvanyuma lw’obudde yadde nga abakyala abamu bafuna olulumizibwa enseke okujja nga bwekugenda okumala enaku oba wiiki ziwera. Obulumi buno bujjanjabwa na NSAID nga Ibuprofen.

Okukendeeza obulumi munkola eyabulijjo kikolebwa ku nabaana. [1]

Abakyala abasinga nga bamaze okubakolako bavaamu omusaayi n’okulumizibwa enseke wakati mukununibwamu olubuto naye obubonero buno bukendera oluvanyuma lw’enaku.

Kyabulijjo okufuna enkyukakyuka mundowooza wakati mukujjamu olubuto mu dwalilo era omukyala bwayagala obuyambi obusingawo, nonya kansala. [1]

Obuzibu obuyinza okuva mukujjamu olubuto nga booza munabana

yadde nga enkola eno eyinza obutaba nabuzibu, waliwo obuzibu obuyinza okugivaamu nga: okuvaamu omusaayi omungi, yinfekisoni’ n’abaana okufuna obuvune n’ebitundu ebigyetolodde or olubuto obutavaamu bulungi.

Obuzibu buno bukendera singa ensonga ekolebwako mukugu, kikulu okumanya ebiyinza okuvaamu nga tonakiriza kugikozesa.

Okukozesa ennyo enkola eno tekuvaamu butazaala. [1]

Oluvanyuma lw’enkola eno, waberawo obunonero omukyala bwalina okwegendereza olwo nanonya abakugu [2]:

  • Okuvaamu omusaayi omungi (oyinza okujjuza paadi 2 mussaawa 2 oba okusingawa)
  • Omussujja nga wayiseewo essaawa 24 nga ojjemu olubuto
  • Obulumi obusukiridde
  • Obubonero obwoleka nti okyalina olubuto nga (okusindukirirwa emeeme, amabeere agayimiridde)

Okufuna obubaka obusingako wano

Kwatagana ne ba kansala baffe, oyongere okutegera ebikwata ku nkola z`omuddwaliro nga booza munabana (MVA) oba bakozesa masanyalaze (EVA) era ofune okuyambibwa n`okumanya enkola endala okusinzira ku mbeera jjolimu. Osobola nokuyiga ebikwata ku nkola endala okujjamu olubuto nga okuzesa obuweke bwoba olubuto luli wansi wa wiiki 13.

Abawandisi:

Bya ttimu ya safe2choose n’abakuggu okuva mu carafem, okusinzira kundagiriro ya Ipas 2019 nendagiriro y’ekitondongere kyebyobulamu munsi yonna 2012.

carafem ewa obuwereza obwekikuggu mu kujjamu olubuto era egaba n`enkola za kizaalaggumba abantu basobole okuwa amabanga abaana

Ipas Ky`ekitongole kyoka ekyensi yona, ekitadde omulamwa ku kusasanya obuwereza bwokujjamu olubuto wamu n`enkola za kizaalaggumba

WHO Ekitongole ky`ensi yona ekya UN ekivunanyizibwa ku byobulamu munsi yona

[1] World Health Organization (WHO). Safe abortion: technical and policy guidance for health systems, second edition. 2012. Retrieved from: https://apps.who.int/iris/bitstream/handle/10665/70914/9789241548434_eng.pdf;jsessionid=F77B761669FC579124C1E9CA2CC3CFDB?sequence=1

[2] Ipas. Clinical Updates in Reproductive Health. 2019. Retrieved from: https://www.ipas.org/wp-content/uploads/2023/09/Ipas-Clinical-Updates-in-Reproductive-Health-CURHE23b.pdf

Okujjamu olubuto nobuweke

Funa ebisingawo

download pdf icon Okwooza munabana

Kebela ku vidiyo eyokwooza munabana

Obuyambi bwaffe