KI KYE TULI ERA N’OBUWANVU BWENKOLA ENO
safe2choose (Ekitongole oba ffe)Kino kye Kitongole ekitali kya magoba era nga kiwa enkola ya digito n’omukutu gwa yintaneeti ne tekinologiya akwatagana nakyo okuyunga abantu buli wamu ku mawulire amatuufu era agatuukira ddala ku ngeri z’okuggyamu embuto ezitali za bulabe,basobole okuggyamu embuto mu ngeri ey’obukuumi mu kifo ki,ddi,era ne gwebasinga okuwulira nga beeyaza(enkola). Enkola Eno ekungaanyiza wamu amawulire agakwata ku muntu(PII) agakwata ku bantu abo abagikozesa n’abakozi b’Ekibiina, abakola kontulakiti abetongodde,n’abantu abasaba ebifo(abakozesa) ng’ebyo. Enkola Eno ey’ekyama elambulula ebika bya PII ebikung’aanyiziddwa n’eddembe ly’Omukozesa erikwata ku PII gwe tukung’aanya. Tulina era tufuga ensonga nnyingi ez’enkola,naye okutumbula okukola obulungi, ebitundu ebimu biweebwa Abagaba Empeereza z’Ekibiina ekyo’Okusatu.
Twakola era ne tugoberera Enkola Eno ey’eby’ekyama okukuuma eby’ekyama by’Abakozesa.
ENKYUKAKYUKA MU NKOLA ENO N’EBIRANGO EBY’OKUGATTA EBYEKYAMA
Tulina eddembe okukyusa Enkola Eno ey’Ebyama mu biseera eby’omumaaso. Tetujja kutegeeza abakozesa ku nkyukakyuka entonotono ezitakosa bukuumi bwaabwe obw’ekyama, okutereeza enjawulo mu mpandiika,ne/oba okwongerako amawulire agatali ga bintu. Ku nkyukakyuka yonna ey’ebintu,tujjakubanga tutegeeza Abakozesa nga tuyita mu email ku byonna ebibakwatako.Kino kitegeeza ntino singa Omukozesa aba tawaddeyo ndagiriro ya email entuufu,tetusobola kubategeeza ku nkyukakyuka yonna mu nkola eno. Enkola Eno ey’Ebyama eyinza okukyusibwa oba okugattibwako nga tuteeka enkyusa empya oba ebiwandiiko eby’ekyama ebirala ebikwata ku nkolagana ey’enjawulo naffe. Ebirango bino biyinza okuteekebwa mu nkola eno, ku mukutu gw’Ekitongole, ne/oba okukuweebwa okwawukana.
ENKOLAGANA N’EMIKUTU GY’ABANTU AB’OKUSATU
Eno Enkola ey’Ebyama tekwata ku mikutu gyonna egy’abantu ab’okusatu egiyinza okuyungibwa ku,oba okutuusibwako okuba ku Nkola eno.Tetuvunaanyizibwa ku kintu kyonna ekirimu,ebikozesebwa,enkola,oba enkola zonna ez’ekyama ez’emikutu ejiyungiddwa oba empeereza endala.Enkola y’okukung’aanya n’okukozesa amawulire ku mukutu gwonna ogwomuntu ow’okusatu oguyungiddwako ejja kufugibwa ekiwandiiko ky’omuntu ow’okusatu ekikwata ku by’ekyama, ekiwandiiko, oba enkola,n’ebiragira byagwo eby’okukozesa. Tukukubiriza obisome.
EBIKWATA KU MUNTU BYE TUKUNG’AANYA:
Mu nkola eno ey’ekyama,ebikwata ku muntu byonna okutwalira awamu tubiyita “PII.” Tukung’aanya ekika ekigazi ekya PII okuva ku Bakozesa,era PII entuufu ekung’aanyiziddwa esinziira ku Mukozesa n’embeera ye. N’olwekyo,PII eyinza okubeeramu ebintu ku bino wammanga:
- Erinnya lyo.
- Endagiriro ya email.
- Ennamba y’essimuyo.
- Endagiriro ya IP,omuwa w’empeereza ya yintaneeti, ekika kya browser, n’olulimi.
- Ekifo.
- Ekitundu ky’obudde.
- Ennimi ezikozesebwa.
- Emyaka,ekikula ky’omuntu, ebifaananyi by’omuntu,n’ebikwata ku muntu ebirala Abakosa by’ebawa.
- Amawulire Abakozesa ge bawa kwebyo ebikwata ku bulamu bwabwe,ensonga zabwe ez’okuzaala oba embuto,ensonga z’okukolagana n’Enkola, n’obusobozi bwabwe okufuna n’okusasula empeereza y”obujjanjabi bw”okuzaala.
- Embeera y’omulimu gwabwe n’amawulire agakwata ku mukozesa.
- Obujulizi n’ebipimo ebiba biweereddwa ku kitundu kyonna eky’Enkola.
ENGERI GYE TUKUNG’AANYA EBIKUKWATAKO EBY’OBUNTU
Tukusaba okukkiriza kwo nga tetunnaba okusolooza PII yo,era nga tukwatagana n’Enkola eno, Abakozesa nga batuwadde olukusa ku byombi (1) ebiragiro n’obukwakkulizo ebiragiddwa mu Nkola eno ey’Ebyama ne (2) okukung’aanya kwetuba tukoze,enkozesa yaffe,n’enkuuma yaffe ey’amawulire gonna ge bawa Ekitongole ne/oba amawulire gonna eno Enkola g’ekung’aanya okuva mu tekinologiya gwe bakozesa okukwatagana n’Enkola eno.
Mu ngeri endala,essaawa yonna ngomukozesa akwatagana n’Enkola, esobola okukung’aanya PII w’omukozesa mu ngeri eya automatic okuva mu tekinologiya yenna Omukozesa gw’akozesa era ejja kukungaanya PII yonna Omukozesa gy’awa mu nkolagana yonna ey’engeri eyo ey’okukwatagana n’Enkola.
Tuyinza okukozesa enkola yonna ku zino wammanga nga tukung’aanya Ebikwata ku Muntu:
- Abakozesa okusalawo okuwaayo ebibakwatako;
- Abakozesa okukolagana n’ekitundu kyonna eky’Enkola eno omuli nga tekikoma ku mpeereza y’omuntu ow’okusatu; ne
- Okukwatira awamu mu kukungaanya ebirowoozo oba n’enkolagana n’Abakozesa.
Tujja kuba nga twongera okunoonya engeri ennungi,ey’obukuumi ey’okukung’aanya PII. Era,bwe tunaasanga amakubo bwegatyo, tujja kuba nga tulongoosa Enkola Eno ey’Ebyama okulaga enkyukakyuka zonna eziba zikoledwa.
KI KYE TUKOLA N’EBIKUKWATAKO EBY’OBUNTU
PII gwe tukung’aanya ne/oba gwe tuba tulina tumukozesa mu engeri zino eziramburiridwa wammanga:
- Okukwatagana naawe ng’Omukozesa mulimu naye nga tekikoma ku okukuwa amawulire agensonga era agakuyamba nga gakwatagana ku ngeri gy’oyinzamu okuzaala.
- okwekeneenya PII wo yenna tusobole okulongoosa mu mpeereza zaffe,ebintu, n’omuwendo gwe tutuusa ne/oba okubunyisa okulongoosa ng’okwo n’amawulire agakwatagana n’Abakozesa n’abalala.
- Okukola emirimu gy’okuddukanya Enkola ne/oba mu nkola yaffe eya bulijo ey’emirimu n’enkola y’Ekitongole.
- Okunoonyereza ku lwa oba okukolebwa Ekitongole.
- Emisomo egimu egya eLearning gye tuwa mu kukolagana n’ebibiina ebirala,tuwa ebibiina ebirala PII ezimu ze tukung’aanya ku bammember baabwe abeetabye mu misomo ginno egy’engeri eno egy’okuyiga ku yintaneeti.
- Okusonda ssente,okuli okuwa mu bufunze PII eri ebitongole ebiwa oba ebiyinza okuwa ensimbi eri Ekitongole.
- PII okumuweereza eri abo abakuumaddembe, ebitongole bya gavumenti ebirala oba ab’obuyinza,oba abantu ab’okusatu nga bwe kibeera kyetaagisa mu mateeka agaba agakola,ekiragiro kya kkooti,okuyitibwa mu kkooti,oba enkola y’amateeka eweebwa Ekitongole.
Tujja kukola eky’ensonga era eky’amateeka ekyetaagisa okwewala okuwalirizibwa okufulumya PII wo eri ekitongole kya gavumenti kyonna oba omuntu ow’okusatu anoonya okugifuna. Naye waliwo embeera nga ebitongole bya gavumenti ne/oba abantu ab’okusatu nga bo balina eddembe mu mateeka okubikkula PII; era, mu mbeera nga zino, Ekibiina kyaffe kijja kuba kirina okugonda.
Ku bikwata ku PII ebikung’aanyiziddwa ne/oba eziterekeddwa Abagaba Empeereza ab’Ekitundu eky’Okusatu abeetabye mu Nkola, tetufuga nkozesa yaabwe ne/oba okutereka PII yonna ng’eyo.
Nga bwe lambukiliddwa mu kitundu ky’Enkola eno ey’Ebyama ekiwandiikiddwa nga “EDDEMBE LY’OKUFUNA, OKUTEREEZA,OKUFUGA, N’OKUSAZAAWO AMAWULIRE GO AG’OMUNTU,” obusobozi buli bubwo okufuga bye tukola ne PII wo nga bwe kitegeezeddwa mu kitundu ekyo.
EDDEMBE LY’OKUFUNA, OKUTEREEZA, OKUFUGA, N’OKUSAZAAWO AMAWULIRE GO AG’OMUNTU
Abakozesa PII yaabwe eri mu mikono gyaffe balina tights zino wammanga:
- Okusobola okufuna omukisa ogw’okulaba n’okufuna kkopi za PII zaabwe.
- okubannyonnyola ku ngeri gye twafunamu n’engeri gye tukozesezzaamu PII waabwe.
- Okutereeza oba okusazaamu PII waabwe.
- Okukyusa engeri gye tukozesaamu PII yaabwe.
Okukozesa eddembe lyonna, Abakozesa balina okutuwa endagiriro ya email entuufu nga ekakasiddwa era nga balina okugoberera ebiragiro bino ebiragiddwa wansi mu kitundu eky’Enkola y’Ebyama eriwandikiddwako omutwe “ENGERI Y’OKUTUTUUKIRIRA N’OKUSABA, OKWETEGEERA,N’EBIBIIZO.” Omukozesa watatuwa endagiriro ya email entuufu nga ekakasibwa, tetusobola kubatuukirira,era kino kiremesa (1) ffe okubategeeza ku nkyukakyuka zonna mu nkola eno ne/oba ensonga ezikwata ku PII waabwe ne (2) ffe okusobola okukakasa endagamuntu yaabwe tusobole okubakkiriza okukozesa eddembe lyabwe ery’okuyingira,okutereeza,okufuga n’okusazaamu PII yaabwe.
ENKOLA N’ENKOLA Z’OMWANA WAFFE OMUTO KU BY’EKYAMA
Tetukung’aanya obubaka obukwata ku bantu abali wansi w’emyaka 13,mubumanyirivu. Kino kiri nti kubanga enkolagana n’Enkola terimu kintu kyonna ne/oba amawulire agakwata ku baana abato abataneetuuka oba agayinza mu ngeri embi okubakosa,tetukakasa myaka gya bantu abakozesa omukutu gwaffe n’empeereza zaffe mu bwetwaze. Kino kitegeeza nti mu butali bugenderevu tuyinza okukung’aanya PII ezimu ez’omwana omuto akozesa Enkola era mu butamanya. Ku kigero Abakozesa kye bawa PII ekwata ku bantu abali wansi w’emyaka 13, Ekitongole kijja kukwata PII oyo okusinziira ku Nkola eno ey’Ebyama. Singa tukolagana n’omwana ali wansi w’emyaka 13 mu bumanyirivu, tulagira omuntu oyo nti ajakweetaaga okukkiriza kw’omuntu omukulu okukolagana n’Enkola eno.
ENKOLA N’ENKOLA ZAFFE EZ’OKUKUUMA DATA N’OBUKUUMI
Okukuuma PII wo obutabikkulwa/ obutakozesebwa mungeri etakkirizibwa,tukola bino wammanga:
Ebyenjigiriza ku Nkola eno: Abakozi baffe,abakiise,n’Abawa Empeereza ab’Ekibiina eky’Okusatu, tubategeeza ku bikwata ku nsonga zino n’Enkola ey’Ebyama n’obukulu bw’okukuuma PII eri mu mikono gyaffe n’egiri mu mikono gyabwe obuta yolesebwa/obutakozesebwa mungeri etakkirizibwa.
Okwongera ku by’okwerinda: Tuli mu kaweefube w’enteekateeka ez’okwongera ku kukuuma PII wo. Mu kiseera kino,tutadde mu nkola kaweefube w’ebyokwerinda eby’enjawulo eyategekedwa okutangira okubikkula oba okukozesa PII wo mu ngeri etakkirizibwa. Nga tumaririza pulojekiti y’okutumbula ebokwerinda,Eno Enkola ey’Ebyama tujja kujiza obujja. Tutuukirire ng’olina ekibuuzo kyonna.
Enkola y’okukuuma Data oba amawulire: Enkola yaffe eyawamu kwe kusazaamu PII mu mwaka gumu okuva ku lunaku lwetumukung’aanyiza. Naye lwakubanga olw’obuzibu bw’Enkola yaffe, kino tekitera kubaawo bulijjo. Okwongera ku ekyo, enkola yaffe ey’okukuuma data tekwata ku PII akung’aanyiziddwa ne/oba aterekeddwa Abagaba Empeereza ab’Ekibiina eky’Okusatu.
Enkola y’okusiba data – Tukimanyi era tutegeera obukulu bw’okusiba PII gwe tukung’aanya, era tuli mu nteekateeka eyokutereezamu oba’okukyusa munkola yaffe PII yenna asibibwe nga awumudde.Wetwogerera,sinti PII yenna nti akuumibwa nga awummude. Okwongera kw’ekyo,enkola yaffe ey’okusiba data tekwata ku PII akung’aanyiziddwa ne/oba aterekeddwa Abagaba Empeereza ab’Ekibiina eky’Okusatu.
Abagaba Empeereza ab’Ekibiina eky’Okusatu: Ku kyabo Abagaba Empeereza ab’Ekibiina eky’Okusatu,tetukebedde mu bwetwaze oba bateeka mu nkola enkola z’ebyokwerinda ze bagamba nti bakozesa.Okwekenenya okwetongodde ng’okwo kuli kwa bbeeyi yawaggulu era kutwala obudde obuwanvu eri ekitongole ng’Ekibiina kyaffe, era abasinga obungi abagaba empeereza ez’abantu ab’okusatu tebatera kukirizza kwekeneenya kuno kukolebwe.
OKUBIKKULA KWAFFE OKWA “TOLONDOOLA”
Tetulondoola Abakozesa ku mikutu gya yintaneeti egy’abantu ab’okusatu okulabika nti tubawa obulango obwekigenderere N’olwekyo, tetuddamu ku bubonero bwa Tolondoola oba Do Not Track(DNT).
ENGERI GY’OSOBOLA OKUTUTUUKIRIRA N’OKUSABA,EBYOKUYIGA,N’EBIBUUZO:
Engeri y’okututuukirira n’okusaba, okuteesa, ne/oba ebibuuzo, tukusaba otuweereze obubaka ku email eya privacy@safe2choose.org. Nga tetunnaba kwongera PII yonna oba okukola enkyukakyuka yonna mu PII,tujja kukozesa endagiriro ya emailo eri ku fayiro okukakasa nti omuntu oyo yakola okusaba.Eby’ekyama nyo bikulu nyo gye tuli.
Nga bwe wandikiddwa waggulu, Omukozesa watatuwa email ekakasibwa okuba entuufu nga yabade akolagana naffe mukusooka nga atuwa PII we, tetusobola kumanya ebimukwatako; era kino kiremesa omuntu yenna okuba ne ddembe ku PII gwe tulina
Ebipya ebiyakafuluma
Enkola Eno ey’Ebyama yatereezabwa nga July,2024. Tujja kuza’bujja Enkola eno ey’Ebyama waakiri omulundi gumu bu luvannyuma lwa myezi 12