Ebika byokujjamu olubuto mu ddwalilo

In-Clinic Abortion

Okwanjula : waliwo enkola nnyingi ezokujjamu olubuto/ okwoza mu nabaana mu ddwalili/kiliniki era zikolebwa ku mitendera ejjenjawulo

Okujjamu olubuto mu ddwalilo/kilinikikyeki?

1/ okunyonyola okwooza mu nabaana

okwooza mu lubuto nabaana nga ojjamu olubuto tekurina kabenje, era 99% kukolera ddala nyo, kukolebwa mu ddwaliro omusawo omutendeke omukugu. [1]

Omusawo kozesa ebyuma okugula omumwa gwa nabaana, nakozesa enkola enddala okussikkamu n`okununamu ebitundu tundu by`olubuto okuva mu nabaana. omukyala asubilwa okufunamu enkenyera/obulumi mu lubuto, n`okuvamu omusaayi omutonotono okumala ennaku oba wiiki entono tono. [2]

2/ Ebika ebyenjawulo

waliwo enkola n`engeri nyinji nyo ezokulondako mu dwalilo naye zisinga kusinzira ku banga lya lubuto okusalawo jjewetaga. Okusalawo kuyinza n`okusinzira ku kitundu mwoli, okubelawo kw`ebyuma, n`okusalawo kwa omusawo omukugu. [1], [2]

  • Okwoza munabana MVA nkola yakusikamu wamu n`okununamu ebitundu by`olubuto okuva mu nabaana , ekozesebwa paka wiiki/sabiiti 14.
  • Okukozesa amazanyalaze EVA nkola yakusikamu wamu n`okununamu ebitundu by`olubuto okuva mu nabaana , ekozesebwa paka wiiki/sabiiti 15 .
  • Okugaziya nokujjamu D &E Ekozesebwa okusuka ku wiiki 14.
  • okukozesa ebisa, omukyala nasindika ,ku wiiki 16 nokweyongerayo.
  • Okugaziya nokukolokota D&C Yadibizibwa kumulembe guno ela kati osobola okukozesa okwooza munabana oba D&E.

safe2choose ewagira era ekozesa okwooza munabana /MVA oba okukozesa amasanyalaze/EVA ku mbuto ezili mu myeezi esatu egyisooka oba nga wakatandi egyidako era ewa ebikwata ku nkola zino mu bujuvu wano .

3/ okusirisa n`okukendeza obulumi nga ojamu olubutto

wali enkola n`ebbika ebyenjawulo ebisobola okukozesebwa okukendeza oba okujawo obulumi wamu n`okusilisa mu dwalilo . Kino kisinzila ku banga ly`olubuto, okuberwo kwe ddagala mu ddwaliro. [3]:

  • ELIKUBWA MU KIFO KYENYINI: lino eddagala likubibwa ku mumwa gwa nabaana, omukyala nabeera mukakamu nga akolwako, era abeera alaba n`okutegera bulungi.
  • Okusirisamu akatono: Eddagala Likubibwa mu misuwa neyebasa omukyala naye nga ayogera era nga asobola nokudamu byomugamba.
  • Okusirisa okwamanyi: wano eddagala likubwa mu musuwa, era omukyala neyebakira ddala ,nga okubako nekyomugamba, we tagga kulekana nyo.
  • Okusirisa okwebasiza Ddala: Wano ebika by`eddagala ebyenjawulo bigatibwa, ebimu biyinza okuba eby`okunuusa ebirala bya mu misuwa, era wano omukyala yebakira ddala nga tategera kigende mu maaso yadde. Tasobola wadde okuwulira ne bwomuyita tayitaba wadde okwenyenya.

MVA kyeki?

MVA y`enkola ennungi enyo eyokujjamu olubuto nga twoza mu nabaana naddala mu myezi esatu ejisooka oba omwezi gw`okuna nga gwakatandika paka sabiiti/wiiki 14 [2]. Ebanga ly`olubuto MVA kwekoma lisinzira ku ddwaliro, wamu ne dokita oba omusawo omukugu akukolako.

Omusawo omutendeke omukugu akozesa ebyuma nanuunamu n`okujjamu olubuto n`ebisigalira byalwo byona.MVA Esing ku kolebwa nga eddagala likubwa mu kifo kyenyini,kumumwa gwa nabaana, era wano omukyala abera ategera buli kigenda mu maaso. Kitwala wakati we dakika nga 5 ku 10. omukyala ayinza okuwuliramu obulumi nga bamukolako era ayinza okufunamu okuvamu omusaayi omutonotono okumala ennaku/wiiiki entonotono. okufuna ebisingako wano kebera wano.

Okukozesa amasanyalaze okujjamu olubuto kyeki?

Okukozesa amazanyalze EVA y`enkola ennungi enyo efanagana ne MVA eyokujjamu olubuto nga twoza mu nabaana naddala mu myezi esatu ejisooka oba omwezi gw`okuna nga gwakatandika. EVA ekolebwa omusawo omutendeke omukugu.

Omusawo akozesa ebyuma okuli eky`amasanyalaze okukozesa empewo okussikamu n`okwooza mu olubuto/omwana mu nabaana.

Enjawulo wakati wa MVA ne EVA eri nti EVA ekozesa amasanyalaze okufuna omuuka nesikamu n`okununamu olubuto ne bisigalira byalwo era yo terekaana nga MVA. EVA eyinza obutabera mu bitundu bya bankusere olw`ebula ly`amasanyalaze. Abasawo bayinza okujikozesa wakati wa sabiiti 10 ku 12 olwensonga nti EVA ekolera ku sipidi oba mubwangu okusinga MVA. [2]

Okugulawo,Okugaziya no kufulumya

Okugulawo,Okugaziya no kufulumya (D & E) Y`enkoola, y`okujjamu olubuto ekozesebwa nga olubuto lusuze wiiki/sabiiti 14. okukozesa kwa D & E kusinzira ku mateeka, agafuga okujjamu embuto okwetorora ensi yona. D & E esobola okuberawo ku bakyala bona oba nga ekugirwa abakyala abayina ensonga ezenjawulo. okufuna obubaka obusingako wano kebera wano.

Omumwa gwa nabaana gu yengezebwa ne ddagala okuyambako okugugula wo era eddagala lino liwebwa essawa emabega nga omusawo tanatandika kya kuggula nabaana na kijjamu bisigalira bya lubuto. omusawo omutendeke akozesa ebyuma, wamu ne EVA, okujamu olubuto. Kativi kasobola okukozesebwa okusinzira ku banga/ obukulu bw`olubuto/ wiiki meeka,. eddagala eliweweza obulumi/ eli silisa lisobola okukozesebwa okusobola okukendeza obulumi wamu n`okuyamba omukyala okubera omukakamu nga akolebwako. [2], [3]

okuggulawo, okugaziya n`okukolokota kyeki?

Okuggulawo, okugziya n`okukolokota (D&C) nkola eyadidizibwa mu kujjamu embuto mu ddwaliro era nga MVA/EVA yajidira mu bigere.

Mu D & C, Omumwa gwanabaana guggulwawo, era obuma obukolokota nebukozesebwa okukalaka ebisinge bya nabaana okujjamu olubuto. waliwo omukisa munene nnyo okufuna akabenje, wamu n`obulumi bwogerageranya ne MVA/EVA. Era ekitongole ky`ensi yona (WHO) kiwabula nti tesanidde kukozesebwa. [2], [3]

Okuteekako ebisa kyeki?

ebisa bitekebwako olubuto nga luli sabiiti/wiiki 16, n`okusingawo , era kikozesebwa nga okujjamu olubuto nga kutegekedwa nga waliwo ensonga ezebyobulamu ezenkizo nga okujjamu olubuto kwekutaasa obulamu bwa maama. Ensonga zikyukakyuka okusinzira ku kifo mw`oba oli, amateeka agafuga ekifo ekyo.

Era enkola eno efananira ddala nga omukyala asindika omwana azaala. Eddagala lileeta ebisa n`omumwa gwa nabaana okwegula okusobola okufulumya omwana ali mu nabaana. ekolebwa mu dwaliro ow`ensonga nti olubuto lubera lukuze nga omukyala yetaaga okulondelebwa n`okubuddabudibwa okwenjawulo. wano omukyala asindika omwana nga ateredwako eddagala. ebyuma bikozesebwa singa wabawo ekiganye, era eno enkola y`okujjamu olubuto telabikalabika kusinga D & E, etwala obudde bungi [2]

okujamu/okwooza mu olubuto mu ddwaliro MVA/EVA sente meeka ?

ebeyi ekyukakyu okusinzira ku kifo mw`oli, okuberawo kw`ebikozesebwa mu ddwaliro, eddwaliro weliri, ebanga ly`olubuto

Okulongosebwa/okwozebwa mu lubuto nga ojjamu olubuto tekirina kabenje?

okulongosebwa/okwozebwa mu lubuto nga ojjamu olubuto tekirina kabenje singa kibera kikoledwa omusawo omukugu omutendeke era amalwaliro galina okugoberere entekateka za WHO ku nsonga eno. [2]

  • Entekateka zino mulimu
  • ani asobola era akirizibwa okujjamu olubuto
  • enkwata y`eddagala
  • ebyuma ebiyonja
  • enkwata ya kasasiro enungamu
  • okutendekebwa.

Era bakyala abagala okujjamu olubuto mu ddwalilo balina okufuba okulaba nga bagenda mu kiliniki/eddwaliro erigoberera enkola z`omutindo oggwawagulu enyo.

Okulongosebwa/okwozebwa mu lubuto nga ojjamu olubuto tekirina kabenje ebitundu 99%. [1]

kabenje ki akayinza okubelawo mu kulongosebwa/okwozebwa mu lubuto nga ojjamu olubuto

newankubadde Okulongosebwa/okwozebwa mu lubuto nga ojjamu olubuto kilina emikisa mitono okufuna akabenje, wali obuzibu olusi obujja, okuvaamu omusaayi omungi, okulwala obuwuka, ebituli mu nabaana, ne bitundu ebimwetolodde, olubuto obutvaamu, oba ebitundu obutagwamu, oba okufa.

bino tebiterakubawo singa omusawo omutendeke akukolako. naye kirungi omuntu okubimanya nga tanakiriza kulongosebwa. [2]

biki ebiyinza okuvamu nga sibirungi singa Okulongosebwa/okwozebwa mu lubuto nga ojjamu olubuto

Enkola zona ezokujjamu olubuto zileta obulumi mu lubuto, nga omukyala akolebwako, bumala nebukendera naye mu bakyala abamu bweyongera okumala ennaku oba sabbiiti/wiiki.

Eddagala elisilisa erikubibwa mu kifo nga booza munabana oba basikamu okusobola okukendeza obulumi nga omukyala akolebwako. [2]

Abakyala abasinga bajja kufuna okuvamu omusaayi noku lumizibwa, nga bamaze okubalongosa mu dwalilo. Kisoboka era omukyala okufuna embera ezenjawulo ezitategerekeka era kino tekirinabuzibu kyona, omukyala bwaba yetaag obuyambi, afune kasansala amubuddebude. [2]

Okulongosebwa/okwozebwa mu lubuto nga ojjamu olubuto kulina obulumi?

obulumi obusinga buberawo nga olongosebwa/oyozebwa mu lubuto, naye obulumi buno bukendera mungu ddala nga omusawo amaliriza. Amanyi n`obunji bwo bulumi businzira ku banga lya lubuto, n`obuvumu bw`omukyala oyo. [2]

okubudabudibwa nga Okulongosebwa/okwozebw nga ojjamu olubuto kuwedde

Nga omaze okujjamu olubuto mu dwalilo abalyala wawebwa olunaku lwe balina okudda bekebejjebwe omusawo, yadde nga kino sikyabuwaze, buli mukyala ayina okuwuliriza okuwabulwa kw`omusawo. Tewali budde bwakakasiwa mu nkola yakisawo, omukyala bwalina okuddamu okukola emirimu ejenjawulo, nga okunaaba, okukola duyiro, okwegata/okwegadanga. Naye kigambibwa nti atandike nga omusaayi kudenderede ddala, era omukyala talina kuteeka bintu mu bukyala bwe okugeza, pamba, okukola duyiro enyo. omukyala yena addemu okukola emirimu ejjabulijo okusinzira nga bw`aba asobola.

Nga tebanava mu ddwaliro abakyala basomesebwe ku nkola za kizaala ggumba zona, ezisinga zisobola okutandikilwawo ewatali kulinda. kiliniki ewe abakyala amasimu oba engeri jjebasobola okwebuza singa baaba bagade. [2]

Ensonga lwaki abakyla bandi nonyeza omussawo;

  • Okuvamu omusaayi ekiyitiride
  • Omusujja (38C OR 100.5F)
  • Obulumi obusukiridde
  • obubonero bw`olubuto obuyitiridde [2]

okunonya enkola y`okuziyiza okufuna embuto zotetekedde/ enkola ya kizaala ggumba, kabela ekibanja www.findmymethod.org

Abawandiisi:

Bya tiimu ya safe2choose nga bawagidwa abakugu ku carafem nga bagobelela emitendela ya Ipas eya 2019 awamu ne WHO aga 2012.

carafem ewa obuwereza obwekikugu, ku nkola ya kizaala ggumba era no kuwa amabanga abaana nga .

Ipas Kyekibiina kyoka ekidadde esira to ku kugaziya abakyala okufuna obuwereza bw`okujjamu embuto nga tebafunye buzibu era n`okusasanya enkola zino.

WHO kyekitongole kya UN(amawanga amagate) ekivunanyizibwa ku nsonga z`ebyobulamu. munsi yona

[1] Weitz, T. A., Taylor, D., Desai, S., Upadhyay, U. D., Waldman, J., Battistelli, M. F., & Drey, E. A. (2013). Safety of aspiration abortion performed by nurse practitioners, certified nurse midwives, and physician assistants under a California legal waiver. American Journal of Public Health, 103(3), 454-461. Retrieved from: https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC3673521

[2] World Health Organization (WHO). Safe abortion: technical and policy guidance for health systems, second edition. 2012. Retrieved from: https://apps.who.int/iris/bitstream/handle/10665/70914/9789241548434_eng.pdf;jsessionid=F77B761669FC579124C1E9CA2CC3CFDB?sequence=1

[3] Ipas. Clinical Updates in Reproductive Health. 2019. Retrieved from: https://www.ipas.org/wp-content/uploads/2023/09/Ipas-Clinical-Updates-in-Reproductive-Health-CURHE23b.pdf

Okujjamu olubuto nobuweke

Funa ebisingawo

download pdf icon Okwooza munabana

Kebela ku vidiyo eyokwooza munabana

Obuyambi bwaffe