Okujjamu olubuto nobuweke

Abortion with Pills

Okujjamu olubuto n`obuweke [1] abantu abamu bakiyita okwejjamu olubuto nga gwe omuntu[2]
Bwonokozesa obuweke ojja kuvamu omusayi, wamu nokulumwa mu lubuto era obubonero bufanaganira ddala n`omukyaala ali munsonga.

Obuweke buno mulimu Mifepristone ne Misoprostol oba Misoprostol yeka.

Mifepristone

– mifepristone ddagala eriziyiza ekirungo kya progesterone, ekirungo ekiretera olubuto/omwana okuberawo mu lubuto. [3]

– Mifepristone eyengeza/okugonza omumwa gwa nabaana era kino kiyamba nyo ku nkola ya misoprostol. [4]

– Mifepristone yeeka tasobola kujjamu lubuto era misoprostol yetagisa. [5]

– Mifepristone akozesebwa kujjamu lubuto, oyinza okusanga obuzibu okumufuna okuzinzira ku mateeka agafuga ekitundu kyolimu. [6]

Misoprostol

– Misoprostol ddagala eriretera nabaana okufuna ebisa, kino nekiyamba olubuto/omwana okufuluma wamu n`omusayi, nobulumi bwomundira.

– Okujjamu olubuto n`obuweke kusobola okukolebwa ne misoprostol yeeka, awatali mifepristone, naye kyanguwa singa okozesa byombi.

– Misoprostol ayina emigaso emirala nga ojjeko guno, (Okuleta ebisa nga omukyala azala, okuziyiza okuvamu omusaayi omunji nga omukyala amaze okuzala, okujjanjaba alusa,..). n`olwokye, ye afunika nyo. [7]

Mifepristone ne Misoprostol ddagala eryayisibwa ekitongole ky`ebyobulamu byensi yona nga eddagala elilina okubelawo eri buli muntu singa abera alyetaze. [8]

okumanya engeri jjoyinza okujjamu olubuto nga okuzesa Misoprostol ne Mifepristone nnyiga wano. Singa okozesa misoprostrol yeeka nnyiga wano.

Okubela obulungi nga okozesa obuweke nebyokwewala

okujjamu olubuto n`obuweke tekirina buzibu bwona eri bakyala abasinga. Waliyo esonga ezekiswo eziyinza okukuziyiza okukozesa obuweke okujjamu olubuto [9]

Mifepristone wakwewala

– singa obela okozesa empeke za steroids okumala ebanga eddene (Prednisolone Oba Dexamethasone). Naye osobola okujjamu olubuto nga okozesa misoprostol yeka.

Byona mifepristone ne Misoprostol tebirina kukozesebwa singa [10]:

– Obela okozesa eddagala eriziyiza omusayi okwekwata nga Warfarin, Heparin.

– olina obulwadde obuleta okuvamu omusaayi ekisukiridde nga Porphyria.

– singa obela olina obulwadde bwolukonvuba ku kitundu ekifulumya ekirungo kya cortisol (Adrenal).

– singa oba olina alajje ku misoprostol, Mifeprestone, prostaglandins. engeri yoka jjoyinza okumanya nti olina alajje ku ddagala lino, nga osoze kulikozesa.

– Singa olubuto lubera wabweru wa nabaana, telujja kuvamu, era laba omusawo.

bwoba olina akaweta, olina okwegendereza, kubanga akaweta/IUD kayongeza emiksa jjokufuna olubuto oluli wabwe wa nabaana. Obulumi bwomundira bubera bungi. Owebwa amagezi okusooka okujjamu akaweta nga tonaba kukozesa buweke bw`okujjamu olubuto. [11]

Bwoba tewekakasa oba obuweke tebukutuuseko kabenje, kwatagana naffe tosobola okukuyamba okumanya ekitufu

jjukira nti safe2choose eri bukugu kuyamba bakyala abanakozesa obuweke paka wiiki 13 ezolubuto Era olubuto lwo bwelubera nga lusuuka wiiki ezo, tujja kukusindika era ekitongole ekinasobola okukuyamba. [12]

EKIFANANYI EBYOKWEWALA

Ebyokwetegekela nga okozeseza obuweke okujjamu olubuto

bw`omaliriza okukozesa obuweke, ojjakufuna obubonero obufaanana nobw`omukyala agenze munsonga, oba avaamu olubuto. Mifeprestone tatera kuleta bubonero. Obubonero bujja nga okozesezza misoprostol.

Obubonero kuliko; obulumi mundira, omusaayi okukulukuta, mu sawa 48 nga omalariza okukozesa misoprostol. Naye osobola okufuna omusaayi okukulukuta okumala enaku oba wiiki. [13]

misoprostol asobola emitawana nga okuleta omusujja, obutiti, okudukana, okusesema, omutwe oguluma, naye bwotafuna buno bubonero, tewaba buzibu. Naye bino bino bijja kuwona mu sawa 48. [13]

kwatagana naffe omanye obubonero obubi

Okumanya nti obuweke bukoze

Bw`ogoberera, ebilagiro ,era n`ofuna omusaayi okukulukuta iniokutuuka oba okusuka ku musaayi gwofuna munsonga , manya nti olubuto luvuddemu. Obubonero bw`olubuto (Amabere okukuluma, okusesema, obukowo, ememe okusindukirira, ) bulina okugwawo mu naku nga 5 nga omaliriza okukozesa obuweke. era kino kiraga nti obuweke bukoze. [11]

Wadde tekyetagisa Singa obera oyagala okweyongera okukakasa. Oyinza okukebeza bino wa manga.

Omusuro/hCG: Eno osobola okujikolera awaka, nyangu nnyo, era osanide olindeko paka wiiki 4 nga omaliriza okukozesa obuweke era erina kuba negative.

Okukebeza Omusaayi: Eno ekolebwa musawo mu ddwaliro era erina kubera negative nga wayisewo wiiki 4.

Kattivi: Eno ekolebwa mu ddwaliro, okumanya olubuto, oba ebisigalira byolubuto mu nabaana .nokumanya ebanga ly`olubuto. Era bwokola kattivi nga wiiiki 2 tezinayitawo, oyinza obutafuna kituufu.

singa wayitawo esawa ezisuka 48, nga omaliriza okukozesa misoprostol era nga tofulumiza musaayi oba nga ofulumiza omusayi mutono okusinzira ku gwofulumya nga oli munsonga, omanya nti olubuto teluvuddemu. [14]

Era ebisera ebisinga kisoboka okuddamu okukozesa obuweke. kwatagana naffe tusobole okukuyamba.

Okufuna obujanjabi nga okozeseza obuweke

singa obubonero bwo bubelanga obwabulijjo, tewetaga ku genda mu ddwaliro. Tewegata ku kebeza lubuto oba kukola kattivi oba okukolokotebwa, okwozebwa mu lubuto.

OKUMANYA NTI OBUWEKE BUKOZE

Okugenda munsonga nga omaze okujjamu olubuto

bw`oba obamaze okujjamu olubuto, osobola okuddamu okugenda munsonga nga omukyala owabulijo, era oyinza okufulumya ejji mu naku 10. era nofuna olubuto singa wegata nga tokozeseza kapiira. [11]
Bwoba toyagala kufuna lubuto lulala, kozesa enkola zakizaala ggumba. osobola okusanga obubaka obusingako wano ku FindMyMethod.org

osobola okugenda mu nsonga mu sabiiti 4-6 nga omaliriza okukozesa obuweke. [15]

Abawandisi:

bya safe2choose n`abakugu abagiyambako okuva ku carafem ,okusinzira ku 2020 ne okuwabulwa kwa NAF (ekitongole ky`ensimbi z`okujjamu olubuto)

National Abortion Federation kitongole kyabawa obuyambi obujjamu olubuto mu North America

Carafem okuwa ebikwata kukujamu olubuto nokutangila okuzaala nokubalilila abaana

[1] World Health Organization. Safe abortion: technical and policy guidance for health systems. Retrieved from: https://apps.who.int/iris/bitstream/handle/10665/70914/;jsessionid=B7AEEBE4F34809D869F73B1ABA7F6221?sequence=1

[2] Reproductive Health Matters. Self-management of medical abortion: a qualitative evidence synthesis. Retrieved from: https://www.tandfonline.com/doi/pdf/10.1016/j.rhm.2016.06.008?needAccess=true

[3] Children by Choice. Medication abortion. Retrieved from: https://www.childrenbychoice.org.au/information-support/abortion/medication-abortion-2/

[4] S. Hopkins MD, M. Fleseriu MD. Chapter 7 – Medical Treatment of Cushing’s Disease. Retrieved from: https://www.sciencedirect.com/science/article/pii/B9780128043400000073

[5] Thoai D Ngo, Min Hae Park, Haleema Shakur & Caroline Free. Comparative effectiveness, safety and acceptability of medical abortion at home and in a clinic: a systematic review. Retrieved from: https://www.who.int/bulletin/volumes/89/5/10-084046/en/

[6] Brooke Ronald Johnson, Vinod Mishra, Antonella Francheska Lavelanet, Rajat Khosla & Bela Ganatra. A global database of abortion laws, policies, health standards and guidelinesArticle has an altmetric score of 221. Retrieved from: https://www.who.int/bulletin/volumes/95/7/17-197442/en/

[7] Webmd. Misoprostol. Retrieved from: https://www.webmd.com/drugs/2/drug-6111/misoprostol-oral/details

[8] WHO. Access to essential medicines as part of the right to health. Retrieved from: https://www.who.int/medicines/areas/human_rights/en/

[9] Ipas. Medical abortion contraindications and precautions. Retrieved from: https://www.ipas.org/clinical-updates/general/ma-precautions

[10 WHO. Essential Medicines List Application Mifepristone–Misoprostol for Medical Abortion. Retrieved from: https://www.who.int/selection_medicines/committees/expert/22/applications/s22.1_mifepristone-misoprostol.pdf?ua=1

[11] Ipas. (2019). Clinical Updates in Reproductive Health. L. Castleman & N. Kapp (Eds.). Chapel Hill, NC: Ipas. Retrieved from: https://ipas.azureedge.net/files/CURHE19-april-ClinicalUpdatesInReproductiveHealth.pdf

[12] National Abortion Federation. 2020 Clinical Policy Guidelines for Abortion Care. Retrieved from: https://5aa1b2xfmfh2e2mk03kk8rsx-wpengine.netdna-ssl.com/wp-content/uploads/2020_cpgs_final.pdf

[13] Planned Parenthood. How does the abortion pill work? Retrieved from: https://www.plannedparenthood.org/learn/abortion/the-abortion-pill/how-does-the-abortion-pill-work

[14] Gynuity. Abortion with self-administered misoprostol. Retrieved from: https://gynuity.org/assets/resources/polbrf_misoprostol_selfguide_en.pdf

[15] BPAS. Caring for yourself after your abortion. Retrieved from: https://www.bpas.org/abortion-care/abortion-aftercare

Okujjamu olubuto nobuweke

Obuyambi bwaffe