Okujjamu olubuto ne Mifepristone ne Misoprostol

Abortion with Mifepristone and Misoprostol Protocol

Okujjamu olubuto n’eddaggala kisoboka okukolebwa ne Mifepristone ne Misoprostol nga bweddiringana oba nga Misoprostol ali yekka. Wano waliwo obubaka obujjude kunkozesa ya Mifepristone ne Misoprostol kukujjamu olubuto. Bwoba osobola okufuna Misoprostol yekka, kebela endagililo eno.

Nga tonatandika

Okugatta Mifepristone ne Misoprostol kikola ebitundu 95/100 okujjamu olubuto olwa wiiki 13 okukka wansi

Jjukira nti obubaka buno bwamugaso kumpeke ezijjamu embuto eziri wakati wa wiiki 13 n’okukka wansi okuva lw’oyosa okugenda mumwezi. Singa osuka wiiki 13 ezolubuto, omutendero gukyuka era obawetaga okufibwako okwenjawulo, tukusaba okutukilira tiimu yaffe ofune okulangamya ne’okulandoko okuliwo.

Okukakasa nti enkola eno siyabulabe gyoli, tukukubiriza oddeyo osome ekitundu ekiriko ebikuganya okukozesa empeke ezijjamu olubuto.Bwoba tokakasa nti enkola eno nungi gyoli, tunonyeko.

Emiwendo gya Mifepristone ne Misoprostol

Okujjamu olubuto olutaweza wiiki 13, wetaga,

Kamu 200mg akaweke ka Mifepristone, ne
ekitono enyo buna 200mcg obuweke bwa Misoprostol

Nayenga, kisingako okufuna dozi endala ey’onuweke bwa Misorostol buna (obulala 800mcg), ekikuwa awmu obuweke munana obwa Misoprrostol (1600 mcg), kubanga oyinza okwetaga okubumira bwona nga olubto lumazze okuvamu, nadala nga oliwakati wa wiiki 9 – 13 ezolubuto.
Singa oyina obuweke buna bwoka obwa Misoprostol, bukozese bwona.

Kilungi okumanya: 200 mg of Mifepristone an 200 mcg of Misoprostol ze dozi ezisinga okozesebwa, naye singa obuweke buba nedozi endala eza mg ne mcg, ojjakwetaga okudamu okubala enamba yobuweke kikuyambe okukoze edagala etuffu.

Bwoba olina ekibuuzo, tukusaba otutukirire. Tuli wano kukuyamba mu legendo lw’okuggyamu olubuto.

Okumira Mifestone ne Misoprostol okujjamu obulungi olubuto

Ebifananyi ebyogera ku Endagiriro yo Okukozesa empeke ezijjamu olubuto eza Mifepristone ne Misoprostol (wansi w'olulimi)

Omutendera okusoka: Mila akaweke ka Mifepristone namazzi

Mila akaweke ka 200mg Mifepristone ne gilasi yamazii.

Singa osesema mudakika asatu nga omaze okumila Mifepristone, kiba kilaga nti tebijja kola. Mumbera eno, oyina wo akaweke ka Mifepristone, damu omutendera ogusoka.

Linako essawa 24 paka 48

Linda essawa 24 paka 48 nga tonagenda kumutendera gudako. Funayo akadde mu sawa ezo ofune wogenda mukinabilo era owulile nga totataganyizibwa, owulile bulungi mukifo ekyo okumala essawa 12 (oba 24) awo obuboneroo bwokumila Misoprostol bujja kutandika.


Omutendera 2: Mila 800 mg eza Ibuprofen

Mila akakendeza obulumi nga Ibuprofen (800 mg) mudakika 30 nga tonakozesa Misoprostol. Acetaminophen oba paracetamol (1000 mg) zisobola okukozesebwa wadde nga ziyinza obutakola bulungi nga Ibuprofen. Guno omutendera tegwetagisa, naye gulagibwa nyo. Ibuprofen ajakukendeza obulumi mu lubuto era ayambe ko nokukendeza okukosebwa kwa Misoprostol.
Kebera ku lupapula lwa FAQs okulaba ebiragibwa ebirala mukukendeza obulumi.
Singa oyina edagala eriziyiza ekikeeto, limile kati.

Linda edakika 30

Lindako edakika 30 nga omaze okumila akakendeza obulumi nga tonamila obuweke bwa Misoprostol litandike okukola. Ibuprofen wamu gaso wona nga tonatandika era nga omaze


Omutendera 3: Teeka empeke 4 eza Misoprostol wansi wolulimi okumala edakika 30

Teka obuweke bbuna obwa Misoprostol (200 mcg each) wansi wolulimi. Kyamugao obuweke okusigala wansi wolulimi okumala edakika 30 okubukiriza okuyingira mumubiri. Osobola okumila amalusu, naye tolya oba tonywa kintu kyona okumala edakika 30.

Oluvanyuma lwedakika 30, osobola okunya amazzi era nomila ebisigalide by’empeke. Ebika b Misoprostol ebimu binyikila mangu, naye ebilara nedda. Naye tofayo, wadde tebinyikira sikyamugaso. Ekikulu obinyweza wansi wolulimi okumala edakika 30, nzinyikira era nezikola bulungi.

  • Singa osesema mudakika 30 nga empeke za Misoprostoal zili wansi walulimi lwo, kilabika nti tebikoze. mumbera eno, ogyakwetaga okuddamu omutendera 3 ne dozi empya eyempeke za Misoprotol.
  • Singa osesema nga omaze okunyweza empeke wansi wolulimi lwo okumala edakika 30, tewetaga kudamu omutendera 3 kubanga empeke zigyakuba zayingidde da mumubiri.

Misoprostol likozesebwa mungeri ndala nyo mumadagal amalala era lisoboola okukozesebwa mungeri ezegyawulo nga ojjamu olubuto. Ebilagilo bino bikulaga engeri yolikozesamu wansi wolulimi, nga oliteka wansi wolulimi. Tiimi yaffe ekulagira enkola bweti kubanga ebilagio byangu byakugobelela era tebileka mukuluo gwa mepe. Teliyo bukera buzula dagala mumubiri.

Naye, sosobola okwagala enkola endala okusinzira kumberayo. Okusinzira kubukakafu by’obujjanjabi, okukozesa obuweke bwa Misoprostol wansi wolulimi wakati wagamu na kamwa oba wansi mu vagina byona bikola. Singa oyagala kuyiga kungeri endala ezokozesamu Misoprostol, kubira team yaffe eyaba kansala ofune ebirgilo oba wetegeleze FAQs.

Omutendera 4: Mila dozi eyokubbiri eya Misoprostol bwebayetagisa

Embuto ezili wansi wa wiiki 9

Singa olubuto lwo luba lwa wiiki 9, kitegeza towetaga dozi yakubiri eya Misoprostol.

Naye, singa wayitawo essawa 24 okuva wewamilide dozi yempeke za Misoprostol era

  • Tovundemu musayi
  • Omusayi gutangala nyo okusinga ogw’ennaku zomwezi, oba
  • Welalikilidde nto omusayi mutono nyo,

osoboola okudamu omutendera 3 era nokozesa obuweke obulala buna obwa Misoprostoal nga wewakoze mukusoka.

Embuto eziri wakati wa wiiki 9 – 13

Singa obera nolubuto lwa wiiki 9 -13, oyina okumila dozi eyokubbiri eyempeke za Misoprostol. Kino kiyamba edagala okukola obulungi era kyongera nekukuvamu olubuto obulungi.

Lindako sawa nya nga omaze okumila dozi ya Misoprostol esoka, kati teka obuweke obulala 4 200 mg wansi wolulimilwo. Kumilayo empeke ezo okumala edakika 30, era gobelera ebiragilo kumutendera 3.

Kyosubila nga omazze okumila Mifepristone ne Misoprostol

Mifepristone

Nga omake okumila Mifepristone, abantu abasinga tebafuna kabonero kona, kitegeza nti osobola okweyongera yo nemirimu gyo ejjabulijjo.

Abantu abamu bavamu omusayi omutono. Singa ovamu omusayi, kyamugaso nyo okugobelera emitendera gyona, omuli no ku mila obweke bwa Misoprostol okumaliriza okugyamu olubuto.

Misoprostol

Bwoba omila Misoprostol, ogya kufuna obulumi mulubuto n’okuvamu omusayi okuyinza okutandika dakika 30 nga omaze okumila obuweke, naye kiyinza okutwala essawa 24. Abantu abasinga batandika okuvamu omusayi wakati wessawa 4 ku 6.

Obulumi obwamanyi mulubuto bubela bwabulijjo kubanga naban eba egaziwa okufulumya olubuto. . Okukakanya obulumi, mila ibuprofen, kozesa botulo eyamzzi agokya, nyiga wansi wekundi negumba lyomukifuba oba tula ku toyileti. Ekikeeto, nya ebyokunya era olye no mbumele obutontono.

Edagala lyo bulumi lisobola okozesebwa mu mutendro gyona. Gobelela ebilagiro, tomila dagala lisuka dozi eyakugambibwa era wewale okukozesa aspirin kubanga ayongerako kubulabe obwo kuvamu omusayi.

Okuvamu omusayi kuyinza okwefananyiriza oba okusingako ogw’ensonga zomwezi.

Osobola okusubira okuvamu ebitole n’obusimu, ebisobola okuba nga biri mu siyizi ezenjawulokisinzira olubuto lw’abbanga ki. Kulubuto oluto, nobusayi obukute obutonotono bualaga nti okugyamu olubuto kwakoze.

Olubuto olusuka wiiki 10, oyinza okulaba oba okuwulira nga ekyana kiyitawo. Kino kintu kyabulijjo era tekiyina kizibu. Singa kibawo, osoboola okukizinga mu padi oba nokisula mu toyileti – kyona ekikukolera.

Bino byona byabulijjo era bilaga nti edagala likola. Wetuli okukuyamba singa wetaga okwogera.

Ebbanga ly’okuvamu okusayi omunjji era nobulumi bw’olubuto bikyuka kubantu abenjawulo. Buli kuggyamu lubuto kuyisa bulala buli muntu.

Tekiyina buzibu singa okuvamu omusayi kulelera awo era nekutandika, era kusobola okweyongerayo mpaka enaku zo ezensonga, ekitera okubawo mu wiiki 4 ku 6.

Obubonero bw’olubuto

Byombi okuvamu omusayi n’obubonero bwolubuto bweyongera mu wiiki ezidako. Abantu abasiga balekerawo okufuna obuboneero bwolubuto nga ekikeeto nokufukafuka mubaku ezidako. Amabere okulumya kekaboneero akasembayo okuvawo era katwala paka enaku 10 nga omaze okukozesa Misoprostol. Singa obuboneero bwolubuto butandika okukendera munaku ntono nga omaze okukozesa empeke, kaboneero nti okugyamu olubuto kwakoze.

Ebiva mukukozesa Mifepristone ne Misoprostol

Abantu abasinga tebakosebwa nga bamaze okukozesa Mifepristone, naye abamu bayinza okufuna kawunguluze oba okuvamu omusayi omutono tono.

Misoprostol aletta

  • okudukana
  • ekikeeto- okusesema
  • kamunguluze
  • olubuto okukuluma
  • omutwe okukuluma
  • omusujja; ne
  • oluwewo
Olukalala lwo buzibu obusiinga okusangibwa mukujjamu embuto nga okozesa empeke za Mifepristone ne Misoprostol

Obubonero obulabula : Okunonya obuyambi

Kyamugaso okufayo eri omubiri gwo era nengeri gyowulira mu mutendero gwona. Wadde nga sikyabulijjo, waliwo obubonero obwelarikiriza nga bwetage obujjanjabi obwamangu.

Genda bakujjanjabe mangu singa

  • Ojuza padi bbiri oba ezisingawo (zona nezijjula okuva maso paka mabega, buliluda) musawa emu oba obutwela era nekimala esawa bbiri ezedelide oba okusingawo;
  • Oyina omusujja gwa diguli 38 (100.4°F) nga gutadnise esawa 24 okuva nga omaze okukozesa dozi esembayo eya Misoprostol era netaka wansi oluvanyuma lwokumila ibuprofen (Kakasa nakapina omusujja) ;
  • Ofuna obulumi obwamanyi nebugana okugenda nga omaze okunila empeke nga Ibuprofen.
  • Owulira omusujja oba nendabika oba empunya yo musayi gwo yanjawulo kwogwo ogwabulijjo ogwensonga-Omusayi gusobola okuwunya obubi era ne gubela gwa kitaka, mudugavu, ngamumyufu guyakayakana, naye singa oba ovamu ekivundu nga kifanana bulala, kiyinza okubela ekilwade.
  • bwofuna enkyukakyuka nga okumyukilira, okusiyibwa, oba obulago, fasi, emikono okuzimba 0 Kibakila nga nti ofunye okugugumuka kudagala. Osoboola okukozesa antihistamine, naye singa ofuna obuzibu nga osa kitegeza okugugumuka kwamanyi era wetaga okulaba omusawo mangu dala.

Jukira, singa wetaga okufuna okufako okw’abasawo, towetaga kwogera nti nakozeseza obuweke obujjamu olubuto okuletera olubuto okuvamu kubanga bajja kubuzula singa wabutade wansi wolulimi

Olukalala lwo'bubonero obulaga akabenje nga okozeseza empeke okujjamu olubuto

Ebiragilo n’okwefaka nga omaze okujjamu olubuto n’obuweke

Mu wiiki ezidako nga omaze okujjamu olubuto nempeke, gobelela obukodyo ne ebiragilo bino:

  • Kozesa padi okumanya omusayi ogukuvamu munaku ezisoka ng’ogyemu olubuto; awo oluvanyuma kyusa odeku tampons oba cup.
  • Osoboola okudayo kibintu byo ebya bulijjo (okukola diyilo, okukola, etc) singa owulira nga wetegese.
  • Osoboola okudamu okwegata wowulira nga wetegese; ekikulu kyakuwuliriza mubili gwo. Wegendereze osobola okudamu okufuna olubuto olulala mangu nga wakajjamu olubuto- mu bbanga tono nga wiiki bbiri -nobwoba okyavamu omusayi.
  • Bwoba oyagala okukebera olubuto oluvanyuma lwokulujjamu okukakasa nti byagenze bulungi, kikole oluvanyuma lwa wiiki nya ku tano. Okukola okukebera amangu kiyinza okukuwa ebivamu ebifu.Singa ebivamu bikyalaga nti olilubuto ku wiiki tano oba okyayina obuboneero bwo lubuto, kubira tiimu yaffe ekuyambe ko.
  • Kyabulijjo okufuna ennewulira ezenjawulo singa olubuto luba lukomye. Abantu abamu bawulira bulungi mangu, abala betaga obudde. Bwoba wetaga obuyambi, okwogera ku nnewulirayo nomuntu gwewesiga asoboola okukuyamba.
Ebifananyi ebyogera ku Ebyokweewaala nga omaze okukozesa empeke okujjamu olubuto

Omuwandisi

Bya timu ya safe2choose era nabawagizi abakugu ku carafem, okusinzilla ku kulungamya kw’okufayo kukujjamu embuto kwa WHO 2022; epipya ku ddwaliro mu byobulamu 2023 bya Ipas ne ebilungamya ku bya malwaliro ku fayo eri okujjamu embuto bya NAF..
Safe2choose eyambibwa Medical Advisory Board eyakolebwa abakugu mu by’obulamu ebyokwegata(SRHR)

carafem ewa okufayo okwedembe n’obukugu nga ojjemu olubuto era entegeka ya maka abantu basobole fuga owudendo n’okuwa abaana babwe amabanga.

Ipas kitongole kya nsiyona ekyesigamye kuku gaziya okufuna okujjamu embuto okutali kwabulabe ne okufayo eri okulwanisa embuto.

WHO ye World Health Organization -kitongole kikugu ekya United Nations ekivunanyizibwa ku byobulamu mu nsiyona

NAF ye National Abortion Federation – ekitongole ekyabakugu mu USA ekiyamba kujjamu embuto okutalikwabulabe, okwekakasibwa ne dembe lyobulamu.

[1] “Ebilagilo ebilungamya okufayo kw’okugyamu embuto.” World Health Organization, 2022, srhr.org/abortioncare/ Yafunibwa November 2024.

[2] Jackson, E. “Obubaka kubwobulamu” Ipas, 2023, www.ipas.org/wp-content/uploads/2023/09/Ipas-Clinical-Updates-in-Reproductive-Health-CURHE23b.pdf. Yafunibwa November 2024.

[3] “Ebilagila ebifuga enkola y’obujjanjabi” National Abortion Federation, 2024, prochoice.org/providers/quality-standards/. Yafunibwa November 2024.

Okujjamu olubuto na okozesa obuweke

Obuyambi bwaffe